Psalms 31

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
leka nneme kuswazibwa.
Ndokola mu butuukirivu bwo.
2 aOntegere okutu kwo
oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
3 bNga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
4 cOmponye mu mutego gwe banteze;
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
5 dNteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.

6 eNkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
nze nneesiga Mukama.
7 fNnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
kubanga olabye okubonaabona kwange
era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
8 gTompaddeeyo mu balabe bange,
naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.

9 hOnsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 iObulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
11 jAbalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 kNneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 lBuli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.

14 mNaye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 nEntuuko zange ziri mu mikono gyo;
ondokole mu mikono gy’abalabe bange
n’abangigganya.
16 oAmaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 pAyi Mukama tondeka kuswazibwa,
kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
era bagalamire emagombe nga basirise.
18 qAkamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
nga babyogeza amalala n’okunyooma.

19 rObulungi bwo,
bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
abo abaddukira gy’oli.
20 sObalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
ne zitabatuukako.

21 t Mukama atenderezebwenga
kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
22 uBwe natya ennyo
ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
n’onsaasira.

23 vMwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
Mukama akuuma abo abamwesiga,
naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
24 wMuddeemu amaanyi mugume omwoyo
mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.
Copyright information for LugEEEE